bukedde.co.ug Engeri gy'ofunamu ssente mu kulimira awafunda
ABANTU bangi babeera mu bibuga nga bamanyi okulima kyokka ne bagayaala kw'ossa n'abamu obutamanya nti, basobola okulimira awafunda mu bibuga era ne bafunamu ensimbi okusinga okubeera awo nga tebalina mirimu.
Ronah Ahumuza, omutuuze w'e Luzira agamba nti, mu 2021 oluvannyuma Iw'okukizuula nti, abantu bangi naddala abavubuka tebalina mirimu, yasalawo okukwatagana ne banne abalala naddala abavubuka ne batandikawo ekibiina kyabwe ekya Holistic Actions for Development and
empowerment (HADE) mwe bayıta okulima ebintu eby'enjawulo nga balimira awafunda.
Agamba nti, baatandika omulimu guno nga bali 15 era ne beewandiisa bulungi ne batandika omulimu gw'okulimira awafunda nga
bamanyıddwa mu mateeka.
https://www.bukedde.co.ug/amawulire/BUK_143034/engeri-gyofunamu-ssente-mu-kulimira-awafunda